Bya Prossy Kisakye
Poliisi ngeyambibwako abajaasi ba UPDF ekubye amasasi mu bbanga bwebadde erwanagana nabekalakasi, ewa Kiseka ababadde begugunga gyebuvuddeko, nga bawakanya okusibwa kwomubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu.
Bano babadde babanja gavumenti eyimbule omubaka Kyagulanyi, okuva mu kkomera gyebamugalidde ku alaimanda olunnaku lwe ggulo.
Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine olunnaku lwe ggulo yasimbidwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ya Buganda Road, nevaunanibwa omusango gwokujemera ebiragiro bya poliisi n’okukuba olukungaana olumenya amateeka.
Abekalakasi bazibe enguudo nebazikumamau ebipiira, ekisanyalaza entambula okumala akabanga.
Kati ayogerera polisi mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango akaksizza nti embeera ezze mu nteeko.
Ate mungeri yeemu aboludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya DP bakowodde bann-Uganda okugoberera obulungi omusango gwomubaka Kyagulanyi oguli mu kooti.
Bwabadde ayogra ne banamawulire ku wofiisi z’ekibiina mu Kampala, omwogezi wa DP Kenneth Paul kakande, agambye nti ebigenda mu maaso bana-Uganda bonna bibakwatako.