Bya Ruth Anderah.
Waliwo omukuuma dembe ow’ekitongole eky’obananyini atutte sabapolisi we gwanga mumbuga z’amateeka, nga ono amulanze kumusaako misango gyakukolagana nebakijambiya abaali batogoza abantu be masaka ne Kampala.
Grace Bukenya eyali akuuma ku New Nana hostel e Makerere agamba nti yakwatibwa wano e Makerere nga kigambibwa nti naye yali omu kwabo abaali bandiika amabaluwa agatisatiisa.
Ono agamba nti nga 23rd-April Ssabapolice yenyini Gen Kale Kayihura yamulaga eri banamawulire nga omu kubatujju bano, kyoka nga kino teyakirinaako bukakafu
Kati no ayagala kooti eragire kayihura okumusasulira byonna byeyamuyisaamu.