
Paapa Francis alangiridde enteekateeka z’okulagayaamu ku mateeka agagobererwa ku kukkiriza abagattiddwa okuddamu okuwasa oba okufumbirwa ssinga badduka mu bufumbo.
Mu kadde kano, eklezia tekkiriza bafumbo kwawukana nga balina kuba bonna okutuuka kufa mu mbeera zonna
Kati ssinga abafumbo bombi basaba okugattululwa, kijja nga kubaawo
Kyokka ssinga omu ku bafumbo bano addamu okufumbirwa oba okuwasa nga tebannamukkiriza mu butongole aba ayenze era aba alina okwenenya
Paapa agambye nti kikyaamu okukuumira abantu abatakyakwatagana mu bufumbo nga y’ensonga lwaki amateeka galina okulagayaamu.
Abafumbo okukkirizibwa okwawukana, babadde balina okuleeta obujulizi obulaga nti mu kusooka baali tebalina kufumbirwa, ekibadde ekizibu ddala