Skip to content Skip to footer

Okulonda kwa NRM kufumbekedde mivuyo

Okulonda kw’abakulembeze ba NRM ku byalo wali ku Old Kampala kugudde butaka.

Kino kiddiridde abalonzi wamu n’abesimbyewo okwekengera enkalala z’abalonzi ezizze nga tekuli bufananayi bw’abalonzi.

Abakakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina basazewo abalonzi bawandike amanya g’abo bebaagala okulonda ku bupapula ekiwakanyiziddwa mbagirawo.

Mu nteekateeka eno atamanyi kuwandiika abadde wakuyambibwako wabula abalonzi nebategeeza nga bweruli olukujjukujju okubba obululu

Mungeri yeemu abatuuze ku kyalo Najjembe  mu disitulikiti ye Bukikwe bavudde mu membera lwakukeera kugenda kulonda bakulembeze ba  NRM  ab’ebyalo nga mpaawo alondesa gwebalabako.

Bano bagamba baalesewo emirimu gyabwe okujja okulonda mu kibiina kyabwe naye tewali kigenda mu maaso.

 

Okulonda kwa NRM ku byalo e mukono tekujjumbiddwa.

Mu bitundu omuli Ggunga, Kitega , kikooza neku maternity abalonzi babizize nga bemulugunya nti tekubaddemu kwa mazima na bwenkanya.

Abamu babadde beemulugunya nti waliwo abakadde abeesimbyewo ku bifo by’abavubuka.

Abamu abalondesa basangiddwa ng’ebikozesebwa babitaddewo kyokka nga teri balonzi .

Abalondesa n’abalonzi bagambye tebawereddwa ssente za ntambula n’ezokubayambako nga bwebabasuubiza.

Amyuka sentebe w’abavubuka ba NRM mu disitulikiti ye Mukono Steven Ssemanda agambye kino kibamazeemu amannyi  obutenyigira mu kulonda kuno kubanga tewali nsimbi zibamala.

Leave a comment

0.0/5