Bya Damalie Mukhaye ne Ndaye moses.
Ekitongole ekikola ku by’ebibuuzi mu uganda ekya UNEB kifulumizza ebyavudde mu bibuzo by’abana abaatula ekibiina eky’omusanvu mu mwaka 2017, nga bino biraze nga abaana bwebayitidde wagulu ebitagambika bwogerageranya n’omwaka 2016.
Mu mwaka guno abaana ebitundu 90.9% bebaayise, songa mu mwaka 2016 abaana ebitundu 87% bebaayita.
Kati bwabadde afulumya ebyavudde mu bibuuzo bino ssabawandiis wa UNEB Daniel Odongo agambye nti kubaana emitwalo 628,606 abaatula omwaka guno, abaana 571,252 baayise nga bino byebitundu nga 90.9%, songa 57,352 bebaagudde , nga bino by’ebitundu 9% bokka.
Wabula ono agamba nti newankubadde guli gutyo abaana abayitidde mu daala erisooka baakendede okuva ku 10% nebadda ku bitundu 9%, abayitidde mu daala ely’okubiri beeyongedde nebava ku bitundu 50% okudda 55.9%.
Bbo abaana abalenzi kizuuse nga baakoze bulungi, okukira kubanaabwe abawala.
Abaana abalenzi ebitundu 5.1% baayitidde mu daala erisooka, songa abawala ebitundu 4.0% bebayitidde mu daala erisooka.