
Abamu ku baalumizibwa mu bulumbaganyi ku baasi e Juba batuusiddwa mu ddwaliro e Mulago nga buli omu alulojja lulwe.
Ku bano kuliko Joyce Nalwadda omutuuze we Nansana nga ono yakubwa amasasi 3 nga n’erimu likyali mu mawuggwe.
Yye Joan Namutebi n’abalala 2 abatategerekesse manya olw’embeera yaabwe ekyali mbi ddala.
Bano bagamba nti basooka kubatwala ku ddwaliro e Gulu gyebajjiddwa nebatwalibwa e Mulago.
Bano balumbibwa abateberezebwa okuba abayekeera olunaku lw’okuna lwa ssabbiiti ewedde era bangi ku bannaabwe baafa.