Bya Shamim Nateebwa
Abaziggu abatanategerekeka batemyeko omutuuze omutwe.
Bino bigudde ku kyalo Banda mu district ye Wakiso, ngomugenzi ye Julius Nsamba owemyaka 34.
Abatuuze baakedde kusanga musaayi mu mulyango gwe era bwebaguddewo nebagwa ku kiwuduwudu ngomutwe guli waagwo.
Ssentebe w’ekyalo Edward Wampamba ategeezezza nti, kyandiba nga kivudde ku nkyana ze ttaka wakati mu boluganda abaludde nga tebalima kambugu.
Entabwe eva ku ngabana y’ettaka lya kitaabwe lyeyabalekera nga buli omu ayagala obuyinza obwenkomeredde.
Poliisi y’e Wakiso omulambo gwa Nsamba egujjeewo negutwalibwa mu ddwaaliro e Mulago.