Skip to content Skip to footer

Abatali balemu besimbawo ku byabalema e`Masaka

File Photo: Abantu abalina obulemu
File Photo: Abantu abalina obulemu

Abalina obulemu ku mibiri gyabwe mu disitulikiti y’e Masaka benyamidde olw’abantu abatali balemu abesimbawo ku bifo byabwe.
Nga bakulembeddwamu akiikirira abalema ku gombolola ye Kyesiiga Bbaale Mudathiru , abalema bano bagamba abantu banji bagyeyo empapula okwesibawo ku bifo by’abalema .

Bbaale agamba abantu nga bano bwebatuuka mu bifo by’obkulembeze belowozaako bokka nebasuula muguluka ebiluma abalema.
Abantu bano bazze banenya akakiiko k’ebyokulonda olwokulemererwa okubaterawo olukalala lwabwe olwawufu nga omuwatwa guno gukozesebwa abatali balema okubetabikamu.

Leave a comment

0.0/5