Skip to content Skip to footer

Omusajja eyetuze lwa kutanzibwa 5000

File Photo: Abantu nga bakayana
File Photo: Abantu nga bakayana

Okuvaako mu disitulikiti ye Buyende waliwo omusajja eyetuze lwakumusingisa musango gwakubba 5000 ezamukaziwe n’aziguliramu omukazi omulala omwenge.

Benifasiyo mulokole myaka 22 y’alabirizza Mukyalawe n’amubba ssente zino n’atwalamu omukazi omulala mu bbaala nebewamu.

Omukyala yekubidde enduulu mu kkooti y’ekika nebamulagira azikubisemu emirundi 2 asasule 10000 zeyabadde talina era nebamugyako n’omukazi.

Kino kyamuggye Benifasiyo mu mbeera neyekyawa neyetololamu emmanju neyeyimbamu ogwakabugu neyetugira ku muyembe.

Leave a comment

0.0/5