Skip to content Skip to footer

South Sudan okwegatta ku mukago gwa East Africa

File Photo: Ekitebe kya Dail Monitor nga kyetolodwa police
File Photo: Ekitebe kya Dail Monitor nga kyetolodwa police

Enteseganya z’okukkiriza eggwanga lya South Sudan okwegatta ku mukago ogugatta amawanga ga East Africa ziddamu okutojjera wiiki ejja mu Arusha , Tanzania.
Kino ekyama kibikuddwa ssabawandiisi w’omukago guno Dr Richard Sezibera bw’abadde alambula ekitebe kya Monitor Publications olunaku olwaleero.
Ono atutegeezeza nti ekya South Sudan okwegatta ku mukago gwa East Africa kisuubirwa okugaziya akatale mu mawanga gano.
Mukiseera kino Uganda eguza South Sudan ebyamaguzi ebisukka mu bukadde 200 obwa doola.

Leave a comment

0.0/5