
Omukulembeze w’eggwanga lya Syria Bashar al-Assad, ategezezza nga bw’ali omukakafu nti banywanyi be okuli Iran ne Russia tebanamuvaamu.
Buli kisoboka kikolebwa okuzza emirembe mu ggwanga lya Syria oluvanyuma lw’emyaka 4 nga olutalo lw’omunda lugenda mu maaso nga abamu balowooza Assad yandisindikirizibwa mu nteekateeka y’okuzza emirembe mu ggwanga lino.
Wabula Assad mugumu nti banywanyi be okuli Russia ne Iran tebasobola kumuvaamu nga era abaagala okumusiggukulula bagende bakombe ku vvu.