File Photo: Omukazi nga yingira mu offici eyamenyedwa
Poliisi yeganye byonna ebyogerwa nti erina kyemanyi ku kumenya ofiisi zabannamateeka ba Amama Mbabazi.
Olunaku olweggulo Mbabazi y’alumirizza nga poliisi bweyabadde n’omukono mu kumenya ofiisi zino okusobola okutabangula obujulizi ku musango gweyawaaba nga awakanya obuwanguzi bwa pulezidenti Museveni.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba oluvanyuma lw’okwogera n’abakuumi abaabaddewo,…
