
Nga ekibiina kya NRM kyetegekera paraliment eye 10th egenda okuyingira, bbo bann-NRM bategese olutuula olwenjawulo eri ababaka baabwe .
Olusirika luno olwokusulayo lwakukulungula ennaku 8 okuva nga 12 March.
Nga ayogerako nebannamawulire ku kitebe kyabwe, ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba agambye nti olusirika lwakuyamba ababaka okumanya ebikwata ku kibiina kyabwe nebiri mu manifesito.
Ono agambye nti olusirika luno lugenda okuyamba ababaka bano okumanya emirimu gyabwe nga batuuse mu palamenti.