Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago awabudde gavumenti etakile omutwe efune engeri y’okuyamba abasuubuzi abaeyie ku nguudo mu kifo ky’okulowooza ku ky’okubagoba ku nguudo.
Lukwago agamba abasuubuzi bano bongera kweyiwa ku nguudo kale nga betaaga webalina okukolera.
File Photo: Lukwago ne Jeniffer Musisi
Loodi meeya agamba okubagoba kungoodo tekijja kuyamba nga obwavu bukyali bubi bannayuganda.
Mukiseera kino enguudo za…
Pulezidenti Museveni n’ekibiina kye ekya NRM balabuddwa obutanenya akulira emirmu mu KCCA Jeniffer Musisi ku bitagenda bulungi mu kibuga.
Nga yakawangulwa mu kalulu ke Kampala, Museveni yakiteeka ku maanyi agasukiridde agakozesebwa mukyala Musisi nga akola emirimu gye mu Kampala.
File Photo :Jeniffer Musisi nga ayogera
Kati akulira ekibiina kya Research World International Patrick Wakida agamba okunenya Musisi baabaze…
Omuwendo gw’abaserikale abaakafiira mu bulumbaganyi obwakoleddwa e Kapchorwa gulinye okutuuka ku babiri oluvanyuma Steven Lubega okufiira mu ddwaliro lye Mbale gyeyatwaliddwa.
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Olunaku lweggulo waliwo ekibinja ky’abazigu abalumbye poliisi ye Kapchorwa nebayimbula munabwe Chemusaka John nebatta omuserikale gwebasanzewo Kaddu Hakim mu kuwanyisa amasasi.
Omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga agamba kati abantu…
W’owulirira bino nga okuwulira omusango ogwawaabwa eyesimbawo ku bwapulezidenti nga awakanaya ebyava mu kulonda Amama Mbabazi kutandise wali mu kkooti ensukulumu e Kololo.
Kati kkooti ewumuddemu eddakiika 30 nga bannamateeka ba Mbabazi n’abapulezidenti Museveni wamu n’akaakiiko k’ebyokulonda bakuteesa ku nsonga ezenjawulo.
File photo: Abantu Mukooti
Abalamuzi 9 bebagenda bebali mu kuwulira omusango guno nga bakulembeddwamu ssabalamuzi Bart Katureebe,…
File Photo: Kabaka nga lambula ku bantu be
Namunji w’omuntu yeyiye ku mbuga y’e gombolola ye Kasanda mu ssaza lye ssingo e Mubende okwaniriza ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II okutongoza olunaku lw’ebyobulamu.
Magembe ssabbiiti y’agalina
Sound:embuutu zivuga
Abatuuze be Kattabalanga mu disitulikiti ye Mubende batabukidde poliisi lwakubalemesa kulya nyama y’ente etomeddwa mmotoka .
Poliisi ekubye n’amasasi mu…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ye Kayunga ekyanonyereza ku aziyiza emisango eyasaliddwako omutwe n’ebitundu by’ekyama nebakuliita nabyo.
Akulira okunonyereza ku misango ku poliisi ye Kayunga Maliserino Mulema omugenzi ategerekese nga Saul Kajara ow’emyaka 18 omutuuze ku kyalo Kyerima mu gombolala ye Kitimbwa
Omugenzi era abadde muvuzi wa bodaboda.
Maliserino agamba okunonyereza kwebakakola kulaga nga omugenzi bwebamutemyeko omutwe…
File Photo: Nambooze ngali ne Besigye
Ab’ekibiina kya DP okuva e Mukono bateekateeka kugenda mu maka g’eyakwatidde ekibiina kya FDC bendera e Kasangati poliisi gyekyamuggalidde.
Bano bakukulemberwa amyuka ssentebe wa DP era omubaka wa municipaali ye Mukono Betty Nambooze.
Nambooze azze akunga abantu okukunganya emmere n’ebikozesebwa ebirala babitwalire Dr. Kiiza Besigye.
Nambooze agamba bakutambula olugendo lwonna okutuuka e Kasangati.
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi ekakasizza nga bwewatali Muntu yenna yabulidde mu ttaka eryaziise abantu e Buziga omwafiiridde abantu 4 wamu n’okulumya abalala 4.
Akulira poliisi enzinya mooto Joseph Mugisa agamba bayiikudde ekifo kyonna wabula tebasanzeyo Muntu yenna abuutikiddwa ttaka.
Akabenje kano kaguddewo bazimba kisenge okwetolola enyumba emu ku lusozi.
File Photo: Abavubuuka nga balonda
Ekibiina kya DP kyefuze ebifo byabameeya b’ebibuga wamu nebakansala.
Kizze munna Dp Matia Lwanga Bwanika Kyajje awangule obwa ssentebe bwa disitulikiti nga era nebakansala abasinga okutuula ku lukiiko lwa disitulikiti ba DP.
Disitulikiti ye Wakiso erimu municipaali 4 okuli Kira, Makindye Ssabagabo, Nansana ne Entebbe.
E Entebbe Vincent Kayanja yeddiza ekifo kye bw’afunye obululu…
File Photo: Sekiito ngali na basubuuzi
Abasuubuzi bakuno basanyukidde ekyeggwanga lya South Sudan okwegatta ku mukago gwa East Africa.
Omwogezi w’ekibiina ekigatta abasuubuzi mu Kampala ekya KCITA Isa Ssekito agamba kati ab’eggwanga lino osanga banagondera amateeka nebatunula mu nsonga eziluma bannayuganda abasuubuzi abakolerayo.
Ssekitto kati agamba abasuubuzi bakuno basobola okukozesa omukago guno okubanja ssente zaabwe zebafiirwa mu katubagiro…