Loodi meeya wa Kampala Elias Lukwago awabudde gavumenti etakile omutwe efune engeri y’okuyamba abasuubuzi abaeyie ku nguudo mu kifo ky’okulowooza ku ky’okubagoba ku nguudo.
Lukwago agamba abasuubuzi bano bongera kweyiwa ku nguudo kale nga betaaga webalina okukolera.

Loodi meeya agamba okubagoba kungoodo tekijja kuyamba nga obwavu bukyali bubi bannayuganda.
Mukiseera kino enguudo za kampala ezenjawulo zikwatiridde n’abasuubuzi abatunda ebintu ebyenjawulo okuli engoye, engatto n’ebirala nga era abakolera mu maduuka balajana.