File photo: Ababaka ba Palimenti
Ababaka ba palmenti eyekkumi basabiddwa okukulemberamu kawefube w’okuzza engulu eby’obulimi n’obulunzi mu ggwanga.
Ssentebe w’akakiiko ka palamenti akakola ku by’obulimi Mathius Matthias Kasamba agamba ababaka bano tebasanye kwerabira byabulimi kubanga byamugaso nyo mu kutumbula ebyenfuna by’eggwanga.
Kasamba agamba kino kwakwongera ku nfuna yabannayuganda wamu n’emmere mu ggwanga.
File photo|:Kaihura nga kutte ekipande ekiriko Aine
Abatuuze be Luweero bakubidde ssabapoliisi w’eggwanga Kale Kayihura omulanga abataase ku bazigu abagenda batta banaabwe mu disitulikiti.
Abatemu bano bazze batta abantu mu magombolola okuli Kalagala, Zirobwe, Kamira, Butuntumulane Katikamu nga okusinga babba pikipiki n’amaduuka ga mobile money.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Savannah Lameck Kigozi agamba poliisi ekolagana n’abakulembeze…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Poliisi nga bali wamu n’amagye baliko abakuumi b’ekyalo 2 bebakutte lwakukuba mwana ow’emyaka 13 amasasi nebamutta mu bitundu bye Nakapiripirit.
Abakwatiddwa kuliko David Lomongin nga omulala tanaba kutegerekeka.
Omugenzi ategerekese nga Alinga Lowaka, omuiyizi ku ssomero lya Lokale Primary School eyakubiddwa amasasi mu kifuba ne mumutwe.
Akwanaganya amagye n’omuntu wabulijjo Captain Dominic Logwe…
File photo: Famile ya Clinton ne trump
Munna democrat Hillary Clinton ne munna Republican Donald Trump bakyalebya mukamyufu kebibina byabye mu America era nga bombi bawangudde mumasaza omuli Alabama, Georgia, Tennessee ne Virginia
File Photo: Mayiga nga bamulambuza
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga aweze omuntu yenna okuzimba ku ttaka lya masiro .
Katikkiro okwogera bino kidiridde okufuna amawulire nti waliwo abantu abatanategerekeka abaagala okuzimba ku masiro ge Wamala nga tebafunye lukusa okuva eri kakiiko ka Buganda Land board.
Wano Mayiga w’asabidde abantu ba ssabasajja okukuuma ettaka nabo abalyagala okusooka okwebuzaanga…
File Photo: Ssentebe webibiina bya bakoozi mu gwanga
Bbo ababaka b’abakozi batiisizza okugenda mu kkooti singa gavumenti tebawa nsimbi zitegeka kulonda kwabwe.
Kino kiddiridde minisita w’ekikula ky’abantu Muruli Mukasa okulangirira akawungeezi akayise nti gavumenti terina nsimbi zitegeka kalulu kano.
Kati ababaka b’abakozi okuli Arinaitwe Rwakajara ne Teopista Nabulya bagamba singa tebalonda bakiise b’abakozi palamenti ye 10 ejja kuba…
File Photo:Besigye nga genda okulonda
Ab’ekibiina kya FDC amakya galeero basuubirwa okumaliriza enteekateeka z’okuwakanya abayavudde mu kulonda kw’omwezi oguwedde.
Olunaku olweggulo ab’ekibiina kino balemeddwa okuwaayo okwemulugunya kwabwe mu kkooti enkulumu.
Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC Maj Gen Mugisha Muntu agamba batandika butandise wabula nga kati bakunganyizza obujulizi obumala okuwaayo empaaba yaabwe.
Olunaku lw’eggulo ye Amama Mbabazi y’awaddeyo okwemulugunya kwe mu…
File Photo : Abantu nga bisimbye olwakasota
Okulonda kwaba meeya b’amagombolola ne municipaali kutandise mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Wano mu massekati ga Kampala abantu bakyali batono nga era bangi baguddewo amaduuka gaabwe bekolera.
E Makindye ebikozesebwa bituuse ewalonderwa ewenjawulo okuli essomero lya Imen Primary school, ku muluka nekukasaawe.
Abamu ku besimbyewo kuliko Ali Mulyanyama owa DP, Biruma Rashid owa…
File Photo: Fred Enanga
Poliiisi yenyamidde olw’abantu abakozesa obubi omutimbagana gwa yintaneti nebateekako obubaka obukuma omuliro mu bantu obugendereddwamu okuleeta obutabanguko mu ggwanga.
Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred enang ategezezza nti bazze balondoola ebitekebwa ku mutimbagano nebakizuula nti kati abasinga bakoowolerako balala kukola fujjo.
Kati poliisi okumaklawo kino bakutandika okukunya bonna abawandiika obubaka…
File Photo: Abed Bwanika owa PDP ngali mukalulu
Eyabadde yesimbyewo ku bwapulezidenti Abed ti.
Nga ayogerako nebannamawulire olwaleero, Bwanika ategezezza nga bw’ayagala okuwabula Besigye ku mbeera gy’alimu ey’okusibibwa ewala n’ekyokukola.
Mungeri yeemu Bwanika aneneyezza abakulembeze b’abayisiraamu mu ggwanga ku ky’obutanyega nga omu ku waabwe era ssentebe w’akakaiiko k’ebyokulonda Dr Badru Kiggundu agenda mu maaso n’okulayira mu linya lya…