Skip to content Skip to footer

Fdc ekyakalambidde kubyava mukulonda

File Photo:Besigye nga genda okulonda
File Photo:Besigye nga genda okulonda

Ab’ekibiina kya FDC amakya galeero basuubirwa okumaliriza enteekateeka z’okuwakanya abayavudde mu kulonda kw’omwezi oguwedde.

Olunaku olweggulo ab’ekibiina kino balemeddwa okuwaayo okwemulugunya kwabwe mu kkooti enkulumu.

Ssenkaggale w’ekibiina kya FDC  Maj Gen Mugisha Muntu agamba batandika butandise wabula nga kati bakunganyizza obujulizi obumala okuwaayo empaaba yaabwe.

Olunaku lw’eggulo ye Amama Mbabazi y’awaddeyo okwemulugunya kwe mu kkooti nga awakanya ebyava mu kulonda kwa nga 18.

Okusinziira ku bakungu ba kkooti , abatamatira byava mu kulonda balina okutuusa olwokutaano okuwaayo okwemulugunya kwabwe.

Leave a comment

0.0/5