Bya Ruth Anderah
Omusajja ow’emyaka 40 wakukulungulula emyaka 15 mu kkomera e Luzira lwakusobya ku mwana, owemyaka 9.
Kasango Peter asibiddwa omulamuzi wa kooti enkulu mu Kampala, Wilson Kwesiga oluvanyuma lw’okumusingisa omusango gw’okusobya ku mwana atanetuuka.
Omulamuzi agambye nti oludda oluwaabi lukakasiza, nti omuvunanwa omwana yamusobyako emirundi 2 mu mwaka gwa 2016 mu district ye Wakiso.
Omulamuzi bwabadde awa ensala ye ategezezza nti ekibonerezo ekimuwereddwa kibe ekyokulabirako, eri ba ssedduvuto abalala.