Bya Juliet Nalwoga
Ekitongole kya Rotary Uganda kibakanye ne kawefube okusonda emitwalo gya $ 50, okugula ebyatagisa okulongoosa omusaayi wali ku ddwaliro lye Mengo.
Bino webijidde ngegwanga emabageko libadde litubidde nekizbu kye bbulya lyomusaayi mu malwaliro agenjawulo.
Bwabadde ayogera ne banamulire wano mu Kampala omumyuka wakulira emirmu mu kitongole kino, Dr Emmanuel Katongole agambye nti betaaga akakadde ka $ 1 nemitwalo 30 okukola ku musaayi, mu ddwaliro lye Mengo.
Etterekero lyomusaayi erye gwanga lirimu unit zomusaayi emitwalo 25 songa, unit emitwalo 35 zezetagibwa, nayenga noguliwo ssi mulongoose.