Bya Damalie Mukhaye
Abasomesa ku ttendekero e Makerere nabakozi abalala abatali basomesa, bazikubyemu maiikakiika oluvanyma lwokukitegereako nti obukadde 360 bwakozeseddwa, okusasula abakulu mu biffo ebya waggulu ensako.
Kitegezeddwa nti ensako eno yasasuddwa eri omumyuka wa ssenkulu ku ttendekero, vice chancellor favunayzibwa ku byensimbi, owebyensoma nabalala okuva ku matabi agenjawulo.
Ssentebbe owa Makerere University Academic Staff Association Dr Edward Nector Mwavu, agambye nti kino kyabamazeemu amanyi.
Ate Bruce Twesigye, akulira abatali basomesa agamba nti kino tekyabadde kya bwenkanya kubanga bazze, babanja emisaala ne nyongeza yaabwe nayenga tebaweebwa.
Wabula omumyuka wa ssekulu ku ttendekro Prof Barnabas Nawangwe mu kwanukula, agambye nti abakulu abatuula bifo ebyo, babadde batekeddwa okufuna ensako yaabwe.