Bya Sadat Mbogo
Envunza ezisusse mu ggombolola y’e Kamengo mu district ey’e Mpigi, abakulembeze obuzibu babutadde ku buligo obweyongedde mu maka naddala mu masoso g’ebyalo.
Ssentebe wa Kamengo, Sam Akol ategeezezza nti abazadde tebafudde ku baana baabwe nga n’abamu tebanaaba, basula nabisolo mu mayumba n’obutafaayo kulabirira maka gaabwe.
Abadde ayanukula abamu ku batuuze ku kizinga Buyiga ekisangibwa mu kitundu kino abamuttottoledde ennaku gyebasanze olwenvunza ezaabalumba.
Ssentebe abasabye banyiikire okweyonja lwebanaasobola okwegobako ekizibu ky’envunza n’endwadde endala eziva ku buligo.