Edduuka gaggadde erya Westgate shopping mall mu kibuga Nairobi omwafirwa abantu 67 omwaka gwa 2013 lizeemu okukola olwalero.
Mu mwezi gw’omwenda omwaka gwa 2013 bannalukala ba Al Shabab baalumba edduuka lino nebasindirira amasasi mu bantu,okukkakkana nga 67 bafudde.
Amaggye wamu ne poliisi ya KENYA yamalira ddala ennaku 5 ng’erwanagana nebannalukala bano.
Edduuka lino kati liddabiriziddwa bulungi okutukagana n’omutindo era amaduuka agasinga obungi ku kizimbe kino gagudde.
Kino kigyidde mu kiseera ng’eggwanga lya Kenya lyetegekera okukyala kw’omukulembeze wa Kenya Barrack Obama wiiki ejja.