Skip to content Skip to footer

Amayembe gakwata abakyala n’abasajja

Poliisi ye  Irundu mu disitulikiti ye Buyende eriko omusajja gw’eggalidde lwa bigambibwa nti y’agula amayembe negamulemerera nga kati gabadde gatandise n’okukwata abakazi ku kyalo.

Wankya mugulusi 38 y’agaliddwa olw’amayembe geyagula kati emyaka 2 egiyise okumugaggawaza n’alemererwa okugawa ssaddaaka y’omusaayi buli mwezi n’embuzi emu negamutabukira.

Taata w’omukwate ono Kintu Bumaali ategezezza nga mutabaniwe bweyagula amayembe gano nga mato wabula nga kati gakuze kwekudda ku bakyaala ku kyalo gemaleko enyonta y’omukwano.

Amayembe gano tegakomye ku kusobya ku bakyala wabula galumba n’abasajja negabakolako eby’ensonyi

Okukkakanya amayembe gano ente bbiri zisaddakidddwa abasawo b’ekinansi nebagalamiriza okwamuka ekyalo.

Leave a comment

0.0/5