Bya Kyeyune Moses
Kikaksiddwa nti, ababaka banna-NRM bagenda kwejamu omuntu aleete ebago ly’eteeka erigenda okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.
Bano okutuuka ku nzikiriziganya babade mu lutuula lw’akabondo kaabwe olubadde lukubirzibwa amyuka ssentebe wakabondo kano Solomon Silwany wano ku paraliament.
Ekiteeso eky’okuleeta ebago lino kireteddwa omumyuka wa munamateeka wa government Adolf Mwesigye, ngensonga gyawa nti emyaka tekikyali kyekwaso mu Uganda omuli n’abantu abawangaala okusuka ne myaka 80, sosi nga bwekyali mu 1995 ngawangadde enyo afiira ku myaka 47.
Mu lukiiko lwebabademu ababaka 145, ku babaka 146 bakiriiza nti enyingo ya 102 B ekwatibweko, ngomubaka akalambidde yekka ye Monica Amoding abalala bakiwagide ne ssekuwagira yenna.
Ekiteeso kino kinajukirwa nti kyasooka kuletebwa mubaka we Nakifuma Robert Kafeero Sekitoleko kyoka speaker nakimugobya.
Kati mungeri yeemu kitegezeddwa nti ababaka mu kabondo ka NRM bakutuula ku Bbalaza, okulaba engeri gyebagenda okukwatamu ensonga, okwanjula ebbagolino.
Kino kikasisiddwa Nampala wa gavumenti mu palament Ruth Nankabirwa.