Skip to content Skip to footer

Ssebagala Yegaanye Okutunda Akatale ke Natete

Bya Damalie Mukhaye

Eyali mayor we Kampala Alhajih Nasser Ntege Ssebagala yegaanye okubeera nomukono mu kutunda akatale ke Nateete.

Ono abadde awayaamu nakakiiko akatekebwawo okunonyereza ku mivuyo wa wegyava ku nsonga zakatale kano, akamusanze mu maka ge e Munyonyo.

Ssebagala agambye nti kyandiba nga waliwo abajingirira omukono gwe okukyusa ebyapa byakatale kano.

Wabula era agambye nti bino byaliwo nga yakalondebwa nta tanatuula mu wofiisi nga mayor, nga kigambibwa nti okutunda akatale kano kwaliwo nga 12th May songa yye yalayira kubwa mayor nga 15th mu mwaka gwa 2006.

Kati akakiiko kakyasobeddwa, nga balemrereddwa okuzuula wa epyapa 3 gyebyalaga nga nobukulembeze bwakatale tebumanyi.

Akakiiko kano kaweebwa ssale ssale owolwokuna okuba nga bazudde obuzibu webwava.

Leave a comment

0.0/5