Bya Shamim Nateebwa
Olukiiko lw’ekyalo lutudde ne lugoba gwe balumiriza okuba omumenyi w’amateeka mu kitundu ne balabula n’abalala okwamuka mangu ekyalo
Mu lukiiko lw’ekyalo olutudde mu Dobi zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe n’ekigendererwa ky’okusala amagezi okulaba ng’obumenyi bw’amateeka bukendera mu kitundu .
Abdu Ssekamanya omumyuka wa ssentebe ategeezezza nti nga bwe waliwo omumenyi w’amateeka Jamal gwe baagobye ku kyalo n’abalala saako n’abakolagana n’abamenyi n’abasaba obutalina kubagoba wabula b’egobe nga bukyali .
PauL Mukwaya ssentebe w’ekyalo yategeezezza nti ababbi tebakyaliko budde bamenya amayumba g’abantu emisana n’ekiro ng’obuzibu buva ku bannanyini mayumba abatagala kuwandiisa bapangisa ekiviriddeko abantu abakyamu okusenga mu kitundu
Bano bayisiiza namateeka omuli bannanyini mayumba okuwandiisa abapangisa kiyambe LC okukola ku by’okwerinda ng’emaanyi abatuuze abali mu kitundu ,ko nabatuuze okukwatagana ne LC ku lw’obulungi bw’ekitundu.