Uganda olwaleero yegasse ku nsi yonna okukuza olunaku lw’eddembe ly’obuntu olutambulidde ku mulamwa ogugamba nti ddembe lyaffe lubeerera.
Olunaku lukwatiddwa nga alipoota eyakafulumizibwa eraga nti poliisi yeeyakasinga okulinyirira eddembe ly’abantu.
Akulira ekitongole kya poliisi ekikola ku ddembe ly’obuntu Dr John Kamya agamba nti nabo oluusi batendewalirwa nebakozesa amaanyi ku bantu naddala ssinga wabaawo okusikattira.
Asabye abasirikale ba poliisi okweyisa obulungi kubanga buli lwebava ku mulamwa ekitongole kyonna kisiigibwa ettoomi.