Bya Ruth Anderah
kuwalira omusango gwobutemu, oguvunanibwa Mathew Kanyamunyu, gwongezeddwayo, mu kitundu einaddako, kooti ngewozesa emisango egya nagomola.
Kanyamunyu avunanibwa ne muganda we Joseph Kanyamunyu, ne muganzi we Cynthia Munwangari, okutemula omukozi mu kitongole kyobwnakayewa, Kenneth Akena.
Obutemu buno kigambibwa nti bwaliwo nga Novemmba 12th 2017, e Lugogo ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Abavunannwa, balabiseeko mu kooti enkulu, wabula omuwaabi wa gavumenti Fatina Nakafeero agambye omulamuzi Steven Mubiru, ali mu mitambo gyomusango guno nti, tayinza kugenda mu maaso kuleeta bajulizi be, nga tebayise mu mitendera egyetagisa, era ejisooka okukaanya ku binagobererwa.
Ssabawaabi wa gavumenti, wabula olwaleero talaze bujulizi ki, bwatekateeka okuleeta ku bavunanwa.
Oludda oluwaabi lugamba nti omuganzi bamukuba, amasasi, agaamutta nga bamulanga okukoloboza mmotoka yaabwe.