Bya Damalie Mukhaye ne Ivan Ssenabulya
Abayizi ku ttendekero e Makerere, bayise olukiiko olwamangu, okuteesa ku kiddako, wakati mu kediimo kabakozi.
Abasomesa nabakozi abalala ku ttendekero, ku lwokutaano, bakaanya obutakola nga bawakanya ekyokugoba abamu ku banaabwe, okuli ne ssentebbe wa MUASA Prof Deus Kamunyu.
Bwabadde ayogerako naffe, presidenti wabayizi Papa were agambye nti, tewali kusoma kugenda mu maaso nga nabo tebayinza kusirika, oba okutunula obutunuzi.
Bano baakusisinkana ku Lowkusattu lwa wiiki eno, okutema empenda, ku mbeera eriwo.
Mungeri yeemu, abekiwayi kyabakozi mu kibiina kya NRM, ekya Workers’ League kivumiridde, enkola ya Prof Banabas Nawangwe, okumala gagoba basomesa.
Mu kiwandiiko ssentebbe wekiwayi kino, kyafulumizza, James Tweheyo agambye nti ernkola eno eyobukambwe teyetagisa, kalenga enteseganya zezigwana.
Agambye nti waddenga, bafaayo ku mpisa zabayizi nabakozi naye, enkola eno etyoboola eddembe lyabakozi.