Bya Sam Ssebuliba

Okunonyereza okugya kulaze nti omwaka 2030 wegunatukira, ensi ejja kuba yetaaga amazzi 40% nga kino kyakuva ku misinde ensi kwekulira.
Abekibiina kyamawanga amagatte UN Water aid, alipoota gyebafulumizza mu gwanga lya South Africa ekwata ku mazzi eraze nti abantu obukadde 300 ku bantu obukadde 800 mu wansi we ddungu Sahara mu Africa bakufa enkalamanta.
Okusinziira ku Sabine Dall’Omo, akulira polojekiti ya Siemens Southern and Eastern Africa Prioritizing wetagisaawo enkola eyamanagu okukuuma amazzi.
Bano balagudde nti okukyuka nwesi mu byamakolera, enkyukakyuka yobudde nebyovumbula okwamanyi byebimu ku bigenda okuvaako akabiga ke bbula lyamazzi.