Skip to content Skip to footer

babadde bavumirira ebiri e SouthAfrica batangiddwa okukumba

Xenophobic messages

Poliisi erinye eggere mu kukumba kwabannakibiina kya Pan Africa Live Debate ababadde baagala okukwanga ekitebe ky’eggwanga lya South Africa ekiwandiiko ekivumirira ekitta bagwiira mu ggwanga lya South Africa.

Ban babadde bategese okukumba okw’emirembe okukwanga omubaka w’eggwanga lya South Africa ekiwandiiko ku nsonga eno wabula poliisi n’ebasindikira ebbaluwa ebayimiriza okugenda mu maaso n’enteekateeka zaabwe.

Okusinziira ku bbaluwa eno eteereddwako omukono gw’aduumira poliisi mu Kampala n’emiriraanio Haruna Isabirye,tebaafunye bbaluwa ekakasa nti omubaka wa south Africa mwetegefu okubasisinkana.

Wabula ye akulira okunonyereza mu kibiina kino   Tabu Ogwal ategezezza nga okubagaana bwekibadde tekyetagisa.

Leave a comment

0.0/5