Munnakibiina kya UPC David Pulkol asunsuddwa okwesimbawo ku bwa ssenkagale bw’ekibiina kino.
Pulkol ne Jimmy Akena bazze bawakanya enteekateeka ezinagobererwa mu kulonda kwa 2016 ezaafulumizibwa ssenkagale w’ekibiina kino Olara Otunu nga era bamulumiriza okweremeza mu ofiisi nga ekisanja kye kyaggwako dda.
Ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda ak’ekibiina kino Andrew Nyote ategezezza nga Pulkol n’abalala 6 bwebatuukirizza ebisanyizo by’okwesimbawo nga bwebilambikiddwa mu mateeka g’ekibiina.
Omusanvu abasunsuddwa baakutandika okukuba kampeyini okuva nga 23 okutuusa 11 June nga ttabamiruka w’ekibiina wa nga 12 June.