Skip to content Skip to footer

Namukadde agiridde munju.

Bya Mbogo Sadat .

Wano e Mpigi waliwo abantu abatanamanyika abakkidde enyumba ya namukadde Teopista Nabakooza, 65 nebatekera omuliro okukakana nga afiiridemu.

Bino byonna bibadde ku kyalo Bumera-Kabagambi mu ggombolola y’e Buwama mu district y’e Mpigi.

Abamu ku bamulirwanabe bagambye nti entiisa eno yaguddewo ku ssaawa nga nnya ez’ekiro era kiteeberezebwa okubeera nga abaayokezza  ennyumba bandibanga baasoose kumusobyako .

Atwala police e Buwama Joseph Kamukama azze ne basajjabe ebisigalira nebijjibwawo okubitwala mu ddwaliro ekkulu e Mulago okwongera okwekebejjebwa.

 

Leave a comment

0.0/5