
Akakiiko ka palamenti akasunsula abalondeddwa, kakutuula ku bbalaza okusunsula abalamuzi abaalondebwa mu kooti ensukkulumu n’eyo ejulirwaamu.
Akakiiko kano era kakusunsula abakungu abatuula ku lukiiko lw’amafuta, n’ekitongole kirondoola ensimbi.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omuwandiisi wa palamenti, omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni alagidde abantu bano basunsulwe mangu ddala.
Abalamuzi abagenda okusunsulwa kuliko Augustine Nshimye, Faith Mwondha, Opio Aweri, Eldad Mwangusya, Justice Prof. Lillian Tibatemwa n’abalala.