Skip to content Skip to footer

Ekidyeri tekitambula

water body

Abatuuze mu disitulikiti ye Kalangala beecanze lwakidyeri kibatambuza okufa.

Ekidyeri kino ekya MV Amani kyekibadde kisaabaza abantu wakati wa Entebbe ne Kalangala oluvanyuma lw’ekya  MV Kalangala okutwalibwa e Mwanza okukanikibwa.

Omugoba w’ekidyeri kino Michael Okwalinga ategezezza nga ekidyeri kino bwebakiyimirizza nakyo oluvanyuma lw’okufa.

Omubaka w’ekitundu kino mu palamenti  Fred Badda kati atadde ku ninga minisita w’ebyentambula  Abraham Byandaala abawera entamula endala.

Wabula yye omwogezi wa minisitule y’abyentambula Suzan Kataike asabye abatuuze bagumikirizemu omwezi gumu ensonga yaabwe ekolebweko.

Leave a comment

0.0/5