Bya Kyeyune Moses
Ababaka ba palamenti bayisizza okusaba kwa gavumenti okwobuwumbi 280, okugula enyonyi 2, okuzukusa kampuni ye nnyonyi ye gwanga, Uganda Airlenes.
Paalamenti etuula okuva ku lunnaku Lwokubiri okutuuka ku Lwokuna, wabula olutuula lwaleero lubadde lwanjawulo, kulwobukulu bwensonga.
Kino kyadiridde gavumenti okulemererwa okufuna olukusa lwa palamenti okugula enyonyi 2, obudde bwebwabaweddeeko.
Kati waddeng ababaka bayisizza okusaba kuno, ababka bagobye olukiiko lwa booda, olwekiseera olwalondeddwa okuddukanya kampuni eno.
Bino byebimu ku bijidde mu alipoota yakakiiko ka palamenti ake mbalirira ye gwanga, akabadde kekenneya okusaba kwa gavumenti palamenti okubawa obuwmbi 280, okugula ennyonyi okuzukuisa kampuni eno eyali yagwa.
Ssentebbe wakakiiko kano omubaka wa Ntenjeru Amos Lugoloobi, agambye nti abantu bonna bebalonze abusabuusa, nti balina obudde okuddukanya kampuni en.
Gavumenti yalonze ba memba abekiseera ku booda, okuli Bageya Waiswa omuwandiisi owenkalakalira mu ministry yebyentambula, Keith Muhakanizi omuwandiisi we gwanika lye gwanga era omuwandiisi owenkalakalira mu ministry yebyensimbi ne Laban Mbulamuko commissiona mu ministry yebyensimbi, wabula abaka nga bagala nti booda yonna eno bajiyiwe.
Kati ababak bawabaudde nti kampuni eno eddukanyizbwe wansi wekitongole kya Uganda Development Corporation, okuva wanis wa ministry yebyentambula.