Waliwo aba poliisi ebakwatiddwa nga baliko omukazi gwebafera mu kibuga
Abasirikale bano abawerera ddala bana batwaliddwa butereevu mu kkooti ya cityhall mu maaso g’omulamuzi Moses Nabende abasindise e Luzira oluvanyuma lw’okwegaana emisango.
Abamu ku bakwatiddwa kuliko John Emojong abadde akolera ku poliisi y’omu kikuubo, Michael Ojok owa divizoni ye Kira , Earnest Okello owe Naguru ne Isaac Ochom nga naye wa mu kikuubo kyokka nga bonna basula kajjansi.
Kigambibwa okuba nti bano bekobaanye nebateega abantu nga babanyagulula era nga webabakwatidde nga bali ku Josephine Ojambo gwebasanze e Ntinda.
Bano basindikiddwa e Luzira okutuuka nga 24 omwezi guno lwebanaddamu okusomerwa emisango.