Skip to content Skip to footer

Besigye ayambalidde Kaihura

File Photo: Senkagale wa police Kaihura
File Photo: Senkagale wa police Kaihura

Eyesimbyeewo ku lw’ekibiina kya FDC ku ntebe y’omukulembeze w’eggwanga Dr Kiiza Besigye akalakase ssenkaggale wa poliisi Gen. Kale Kayihura olw’okulumbanga abavuganya olutatadde.

Dr Besigye abadde ayogerako eri abantu be Bukomansimbi agambye nti ebigambo bya Gen Kaihura ebitaggwa ng’ategeeza nga bw’atasobola kukkiriza bavuganya kukulembera eggwanga babikooye kubanga balaga ekyuuyi kimu eky’omukulu ono.

Bino biddiridde ebyafulumidde mu lupappula lwa Observer okulaga nga gen Kale Kaihura awera nti abavuganya tebaggya kukwata ku ntebe wakiri okujjayo amaggye

Besigye agambye nti ku luno bataddewo ekibinja ekigenda okukuuma obululu era nga gavumenti tejja kusobola kukwata ku bululu bwaabwe

Asuubizza nti kavuna akwata ku buyinza wakusooka kuzzaayo kkomo ku bisanja.

Ba maama abasuubizza ebikozesebwa mu leeba ku kisanja kye ng’omukulembeze w’eggwanga.

Leave a comment

0.0/5