Bya Abubaker Kirunda.
Police e Jinja etandise okunonyereza ku nfa y’abafumbo 2 nga bano baasangiddwa nga bagangalamye munju , kyoka nebaleka omwana ow’omyaka ogumu.
Twogedeko n’ayogerera police ye Kiira Diana Nandawula, naagamba nti eno enjega ebadde mu gombolola ye Mukwanga wano e Buwenge.
Ono agambye nti emirambo gisangiddwa munju, kyoka nga omwana waabwe ali awo.
Nandawula agamba nti okumanya kino bamaze kuwulira mwana nga akaaba obutasirika, bagenze okulingiza munju nga abakulu baafudde.
Abafudde kuliko Bryan Masanka ow’emyaka 25, kyoka nga ye omukyala mpaawo yaamutegedde.