Bya Ritah Kemigisa.
Ekitongole ekya Netherlands institute for Multiparty Democracy olunaku olwaleero kyanjudde ensawo ya buwumbi mukaaga nga zino zakuvugirira bibiina byabufuzi mu gwanga.
Ensawo eno eya Political parties Support Project eteredwamu ensimbi aba Democratic Governance Facility era nga yakumala emyaka 3
Bwabadde eyogerako ne banamawulire, akulira ekibiina kino Frank Rusa agambye nti ensawo eno okusinga egenda kukozesebwa mu kuzimba, kko n’okuyamba ebibiina bino okutuukiriza ebiruubirirwa byabyo
Wabula ono agambye nti situgaanye babakwatiddeko, naye bannayuganda bagwana batandike okweteekera ensimbi mu democracy waabwe, sosi kulinda bagwira kubayamba.