Oluvanyuma lwa gavumenti okwanja enongosereza zaayo mu ssemateeka eri palamenti , ab’oludda oluvuganya gavumenti nabo banjizza ezaabwe eri akakiiko ka palamenti ak’ebyamateeka.
Kino kiddiridde amyuka sipiika wa palamenti okutegeeza nti buli awulira nti ebirowoozo bye tebyabadde mu nongosereza ezaayanjiddwa gavumenti waddembe okuwa ebirowoozo eri akakiiko ka palamenti kano ak’ebyamateeka.
Okusinziira ku ssabawolereza wa gavumenti yekisiikirize Abdul katuntu,mpawo ndowooza zaabwe zagatiddwa mu nongosreza za gavumenti kale nga baabdde balina nabo okuwa oludda lwabwe.
Katuntu ategezezza nga bwebavuddeyo ne nongosereza ez’omuggundo mu mateeka g’ebyokulonda naddala ku baani abalina okukakulembera akakiiko k’ebyokulonda n’engeri gyebalina okulondebwamu.