Skip to content Skip to footer

Police eyongedde okusoggola ebikwata ku bantu abaakwatibwa ku USAFI.

Bya Ritah Kemigisa.

Police etegeezeza nga nga bweyongedde okukwataagana n’ebitongole ebikola ku by’okwerinda ebirara okwongera okugaziya mu kunonyereza ku bantu bebaakwata wano ku USAFI , songa era balina n’akakwate kukuttibwa kwa Suzan magara.

Bwabadde eyogerako ne banamwulire  amyuka ayogerera police ye gwanga Patrick Onyango  agambye nti okunonyereza kuno bakuyunze ku bikolwa eby’obutujju, okukusa abantu, okukabasanya abaana kko n’ebirara.

Ono agamba nti bano abaakwatibwa 36  abamu bamaze okukola statement, era nga bakirizza nga bwebabade bakabasanya obwano obuto dalla obubadde mu nkambi yaabwe eno

Mungeri yeemu onyango agamba nti kati omuwendo gw’abantu bebakananunula guweze 154  okuva 112.

 

 

Leave a comment

0.0/5