Skip to content Skip to footer

7 bebanunudde ku muzikiti gwa USAFI bali mbutto

Bya Ritah Kemigisa

File Photo: Onyango nga yogeera

Okunonyereza okugya ku banatu abakwatibwa ku muzikiti gwa Usafi wiiki ewedde, kulaze nti ku bawala 11 bebanunula, 7 bali mbutto atenga kisubirwa nti babakaka akakboozi.

Bwabadde ayogera ne banamawulire ku Media Center olwaleero, omumyuka womwogezi wa poliisi Patrick Onyango ategezeza nti abaana bano bali wakati wemyaka 13 ne 15 nga babakebedde era nekikakasibwa nti babatikka embutto, nebeyatulira nti babadde batlugunyizibwa.

Onyango agambye nti kati batandise okunoonya bazadde babaana bano.

Ate ku bakazi 28 bebanunudde 3 banasi be gwanga lya Burundi.

Leave a comment

0.0/5