Bya Ivan Ssenabulya
Aba FDC batabukidde gavumenti ku nsona zekitongole ekikebera emutindo ekya UNBS, nga bagamba nti bano balemedwa okubavugirira okukola emirimu.
Bwabadde eyogerako ne banamawulire wano Najjanankumbi, amyuka omwogezi wekibiina Paul Mwiru agambye nti bano mu tebalina busobozo na bukugu okwekebejja omutindo.
Bano tebalina mekebejjezo, nga bino webijidde ngamakampuni aganjawulo gaweebwa omulimu, okwekebejja omutindo wabyulanga nago gogerwako nti tegalina busobozi.
UNBS egamba nti yetaaga obuwumbi 400 okuzimba amekebejjezo.
Mungeri yeemu omutindo gwebintu omuffu ku katale gukosa ebyobulamu.
Paul Mwiru agamba nti okujjako nga waliwo ekyamangu ekikoleddwa abantu bakugenda mu maaso okulwala ebirwadde.
Ebibalo biraga nti ebi9ntu ku katale mu Uganda 54% tebitri ku mutindo.