Bya Moses Kyeyune.
Abakulu mu kibiina ekigatta abayimbi ne banakatemba ekya federation of performing artists of Uganda badukide eri speaker Rebecca Kadaga, nga bagamba nti ensonga wezituuse beetaga baweewe ministry eyabwe eyeetongodde
Bano nga bakulembedwamu minister ow’ekisikirize akola ku by’akatemba ne by’obuwangwa Kato Lubwama wamu n’akulira ekibiina kino Andrew Benon Kibuuka bategeezeza speaker nti kakano bagwa mu biti eby’enjawulo, kale nga bandyetaaze batekebwe mukifo ekyabwe
Ono agambye ngi okubeera mu masangazira kibatadde mu mbeera eyobulabe, nga kakano tebalina abafaako wadde abawabula
Bano speaker abasuubuza okukola ku nsonga zaabwe.