Skip to content Skip to footer

Omusomesa y’ettuze

Bya Abubaker Kirunda, Entiisa ebutikidde abatuuze b’e Kiyini-kibi mu municipaali y’e Jinja oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gwomusomesa eyetugidde munju ye

Omugenzi ategerekese nga Robert Mukembo nga abadde asomesa Namayemba primary Schhol mu Namayemba Town Council mu disitulikitu ye Bugiri.

Omwogezi wa police mu bitundu bye Busoga East James Mubi agamba nti ekyavirideko omusomesa ono okwetuga tebanakitegeera bulungi.

Omulambo gugidwawo ne gutwalibwa mu dwaliro okwongera okwekebejebwa.

Mubi awadde abatuntu amagezi okwewala okwetuga singa baba batubidde mu nsulo zebizibu wabula batukirire bakansala babayambe.

Leave a comment

0.0/5