Skip to content Skip to footer

Abalumbye e Kyegegwa ssibayekeera

Kyegegwa attack

Amagye gajunguludde ebigambibwa nti abayeekera bebaalumbye disitulikiti ye Kyegegwa.

Kino kiddiridde ebyafulumidde mu mawulire nga bwewaliwo bamukwata mmundu 7 abaabadde n’amafumu abaalumbye disitulikiti eno nebawamba n’omuntu omu wabula oluvanyuma nebamuyimbula awatali kakwakulizo konna.

Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokubiri  Maj Ronald Kakurungu ategezezza nga bano bwebateberezebwa okubeera abanyaguluzi sso ssi bayeekera .

Kakurungu ategezezza nga bano enfunda ssatu kawefube waabwe ow’okubba emmere bagitikke ku mmotoka zebaabadde nazo bweyagudde butaka kale nga tebatiisa.

Bino webijidde nga omwogezi wa poliisi mu ggwanga Fred Enanga kyajje  etegezezza nga  bwebakyagenda mu maaso n’okunonyereza oba abaalumbye ekitundu kino bekuusa ku bikolwa by’ekiyeekera.

Leave a comment

0.0/5