Skip to content Skip to footer

Poliisi ebatutte tebalinnya

Lwakataka new

Poliisi egumbuludde   ekibinja ky’abatuuze e Kawempe abakedde okwesala omugujje nga baagala kafulu w’okuvuga emmotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka ayimbulwe mangu.

Bano kubaddeko abavuzi ba bodaboda ne bannabyabufuzi nga balaga obutali bumativu n’engeri omusango gwa Lwakataka gyegukwatiddwamu.

Bano bagamba Lwakataka awa abantu banji emirimu mu kitundu kino olwagalagi z’alina kale nga bwatabaawo banji balya enfuufu.

Poliisi nga ekulembeddwa agiduumira mu kitundu kino Patrick Alinyo bano tebabaganyizza kugenda mu maaso na kwekalakaasa kuno.

Leave a comment

0.0/5