Kabaka waba Zulu Goodwill Zwelithini asabye bannansi ba South Africa okusigala nga bakkakkamu era balekere awo okutta abagwiira
Omukulu ono abadde asongeddwaamu olunwe okuvaako obulumbaganyi buno obwakafiiramu abantu musanvu.
Abantu abasoba mu 300 bakwatiddwa olw’okukola effujjo.
Enkumi n’enkumi z’abantu beebakungaanye okuwulira obubaka bwa kabaka ono
Ono agambye nti kikyaamu okusonga ku yye yekka kubanga obulumbaganyi buno bwaava dda kyokka n’asaba abantu okuba abakakkamu