Bya Nelson Wesonga
Gavumenti etegezezza nga bwewaliwo ebbula lya paasipoota z;abantu babulijjo nga kati basooka kufa ku bagenda kujanjabibwa n’abo abafunye omukisa okugenda okusomera emitala w’amayanja.
Okusinziira ku minisitule y’ensonga zomunda w’eggwanga ebbula livudde ku nteekateeka y’okuba nti essaawa yonna bannayuganda baakutandika okukozesa paasipooti ziri ku mutimbagano gwa yintaneti.
Mungeri yeemu minisitule etegezezza nga abantu abasaba paasipoota zino bwebeyongedde ekitabangawo nga omuwendo gwekubisizzamu emirundi 2 mu mwaka oguyise.
Wabula omwogezi w’ekitongole ekivnanyiaibwa ku kuyingira n’okufuluma kw’abantu Jacob Siminyu ategezezza nga ensonga eno bwebagikolako nga nempapula kwebakuba pasipoota zino ezibadde zibuze azibaguza abategezezza nti mu mwezi gumu zijja kuba zituuse.